President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alangiridde nti wateereddwawo okunoonyereza okwenjawulo ku mivuyo egyabadde mu kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North.
Akalulu kaabaddewo mga 14 March,2025 era kawanguddwa munnaNUP Elias Luyimbaazi Nalukoola ate owa NRM Faridah Nambi Kigongo n’akwata kyakubiri.
Abantu 10 bebaavuganyizza mu kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North, ekifo ekyalimu omubaka Muhammad Sseggiriinya eyafa mu January 2025.
President Museveni mu kiwandiiko kyafulumizza akinogaanyiza nti akalulu kano kaabaddemu vvulugu atagambika omwabadde okubba obululu, okutiisatiisa abalonzi, okukyuusakyuusa obululu, n’okwonoona box z’obululu naddala mu Kazo- Angola nti nekigendererwa ekyokulemesa obululu obwo okubalibwa.
Okusinziira ku president Museveni ,obululu obwava mu polling stations 50 ku pollings stations 197 mu Kawempe North bwaayonoonebwa era tebwabalibwa.
president Museveni annyonyodde nti waadde amagye nabebyokwerinda baakola buli ekisoboka okulemesa ebikolwa byeffujjo okugenda mu maaso, tebaalemesa bubbi bwobululu okugenda mu maaso.
Alabudde abo bagambye nti baabala bubi okulowooza nti basobola okwenyigira mu vvulugu oyo nga NRM yeeri mu buyinza,era nti bakusasulira ebikolwa ebyo.
President Museveni era alabudde abantu abatiisatiisa abawagizi ba NRM nti bebabasibyeko Museveni, bano abalagidde bakikomye bunnambiro, baleke abantu beesalirengawo omuntu gwebagala okubakulembeera sso SSI byakubatiisatiisa.
Museveni agambye okumalawo ekibba bululu, essuubi Liri mu buuma obwa Biometric Voter verification machine, era nti buno governemnt egenda kussa essira okulaba nti buteekebwa mu nkola.
Ku nsonga ya bannamawulire abaakubwa, Museveni agambye nti waggya kubaawo okunoonyereza okuzuula ekyaviirako abasirikale ab’ekitongole kya JATT okubakuba.
president Museveni Agambye nti mu ngeri yeemu tayinza kuleka bakozi ba ffujjo kuyinaayina, nga bagezaako okukyankalanya eggwanga, nagamba nti ajjakubakolako nga bweyakola ku mu November wa 2020, bweyaduumira ba Commando nebabagolola ettumba.
Wabula nga bweguli ku bantu babulijjo abazze bebuuza ekigendererwa ky’okusindika abasirikale ba JATT okugumbulula abantu abaali bagenze okulonda, ne president Museveni agambye nti naye akyakyebuuza, era nti okunoonyereza okukolebwa kwalinamu essuubi okumanya ekituufu ku nsonga eno.#



