President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni awanjagidde amawanga ga Africa okwongera amaanyi mu bintu ebiyimirizaawo amawanga gabwe nga bateeka omutindo ku bintu ebikolebwa mu mawanga ga Africa, baleme kwesiba ku bazungu.
President Museveni okwogera bino abadde ku Speke Resort Munyonyo, mu lukuηaana lw’abakulembeze b’amawanga ga Africa olw’omulundi ogwe 11, olw’okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okukulaakulanya amawanga gabwe (African Regional Forum on Sustainable Development)
Agambye nti Museveni agambye nti wano mu Uganda gavumenti eyongedde amaanyi mu by’obulimi okusobozesa abavubuka okufuna emirimu bave mu by’okulela engalo.
Awadde eky’okulabirako nti Ugnada efulumya liita z’amata obuwumbi 5.3 buli mwaka, wabula bannaugnda basobola kunywako liita obukadde 800, nti nga singa baali tebagongerako mutindo negatundibwa ku katale k’amawanga ag’omuliraano, abalunzi bandibadde mukufiirwa.
Mu ngeri yeemu annyonyodde nti Uganda eyise mu muyaga gw’okuteekebwako envumbo okuva mu bazungu olw’okuyisa ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga mu Uganda, nti wabula ebyenkulaakulana byayo byasigala bigenda waggulu n’ebitundu 6%.
President Museveni akubirizza abakulembeze b’amawanga ga Africa abetabye mu lukuηaana luno ,abasabye okukolagana mu byensubulagana bakukulanye amawanga gabwe.
Gen. Yoweri Kaguta Museveni mungeri yeemu alabudde amawanga ga Africa agazimba amagye nga bagazimbira ku mawanga gabwe nti kino kikyaamu, balina kugaziimba nga bagenderera kutebenkeza mawanga ga Africa gonna
Agambye nti n’amagye g’amawanga g’abazungu agajja mu Africa okutebenkeza emirembe tegeetagisa, Africa esobola okwekolera ku nsonga zaayo.