President wa Uganda era ssentebe w’ekibiina ki NRM Gen.Yoweri Kaguta Museven Tibuhaburwa alagidde banakibiina kya NRM ababadde bagala okuvuganya ku kifo ky’o mubaka wa Omoro, okudda ebbali balekere mutabani w’omugenzi Jacob Oulanyah eyali sipiika wa parliament.
Omutabani gwebagala okusikira kitaawe mu by’obufuzi ye Andrew Ojok Oulanyah.
President Museven yasisinkanyemu abantu abenjawulo ababadde begwanyiza ekifo ekyo.
Yetabiddwamu ssentebe w’a kakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr Tang Odoi, omwogezi wa NRM Emmanuel Ddombo ,ssentebe wa district ye Omoro Okello ,mutabani we yali sipiika Andrew Ojok Oulanyah n’a bakulu abalala.
Ensisinkano yabadde mu maka ga president Museven e Rwakitula mu district ye Kiruhura.
Ensonda zitegezezza cbs radio yobujajja nti bagenze okuva mu nsisinkano eno,ng’ababadde bagala ekifo ekyo bakkiriza balekere mutabani w’eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah, nga ye Andrew Oulanyah.
Kitegerekese nti mu nsisinkano eno president yasabye abakulu mu district ye Omoro, okussa obutakanya bwabwe ebbaali bakolere wamu okukyusa ekitundu kyabwe.
Akulira eby’amawulire mu NRM Emmanuel Ddombo ategezeza cbs nti ensisinkano ezenjawulo zakwongera okubeera wo okuttaanya ensonga, n’okukomyawo obumu n’obwaseruganda mu district ye Omoro.
Jacob Oulanyah yaffa ng’ennaku z’omwezi 20 March,2022 mu kibuga Seattle ekya United States of America,gyeyali atwaliddwa mu ddwaliro okujanjabibwa.
Etteeka erifuga okulonda kw’ababaka ba parliament liragira akakiiko kebyokulonda ennaku 60 okuba nga kamaze okujjuza ekifo Kyonna ekiba kisigadde nga kikalu.
Okusinziira ku kakiiko kebyokulonda, okulonda okujjuza ekifo kino kwakubaawo ng’ennaku z’omwezi 26 May,2022.
Enteekateeka z’okulonda zigenda mu maaso. Era okuzza obuggya enkalala z’abalonzi mu kitundu ekyo ekya Omoro ,kwakomekkerezeddwa kwabaddewo okuva nga 14 -19 April.
Okutimba n’okwekeneenya enkalala z’abalonzi kwa nga 25 April okutuuka nga 5 may, mu bifo 84 ebironderwamu mu constituency ye Omoro
Okuwandiisa abagala okwesimbawo ku kifo ekyo kwa nga 12 ne 13 may.
Okunoonya akalulu kubeewo okuva ng’ennaku z’omwezi 16- 24 may.
Okulonda kubeewo ng’ennaku zomwezi 26 may 2022.