Museveni abadde assisinkanye ba Guild president ba University za government wamu n’abakulembeze ba bavubuka abalal, mu Maka g’obwa president e Ntebe.
Museveni agambye nti abavubuka basaana okuteekawo enteekateeka enewagirwa government okwongera okulondoola obulungi projects ezisindikibwa mu byalo nga eya PDM, emyooga, Youth Livelyhood Program n’endala.
Museveni abasuubiza okuddamu okwekeneenya ebisuubizo byazze akola eri ebibiina by’a bavubuka ebyenjawulo okuli n’akakiiko ka National youth council nobulala.
Abakulira abavubuka okubadde ne ssentebe wa National Youth Council,basoose kumusaba nti atuukirize ebisuubizo okuli okwongera ssente ezitekebwa mu kakiiko Kano wamu n’okufunira abavubuka emmotoka zibayambeko okukkunga bavubuka banabwe.
Akulira akakiiko ka State House investors protection unit, Col. Edith Nakalema nga yeyakulembeddemu enteekateeka eno, agambye nti abakulembeze b’abavubuka bano gyebuvuddeko beekolamu omulimu gw’okwongera okulwanisa enguzi ejjude mu bitongole bya government, nga bagamba nti kyekiviiriddeko ezimu ku nteekateeka za government okuziηama.
Col. Nakalema anyonyodde nti yakuηaanya abavubuka bano bwebaali bategese okwekalakaasa mu Kampala gyebuvuddeko olw’enguzi ejjude mu bitongole bya government, n’abasaba okwekalakaasa okwo nebakuyimiriza nga President bweyalagira.
Minister omubeezi ow’abaana n’abavubuka, Balamu Baruhagara asabye abakulembeze b’abavubuka okwenyigira mu by’obufuuzi eby’emirembe okwewala okutabangula emirembe egyaletebwa government ya NRM.