President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni, awanjagidde abakulembeze b’ennono mu Uganda okulwana bwezizingirire basige empisa ez’obuntu mu bavubuka, eggwanga lino bweriba ery’okufuna abatuuze abagunjufu.
President Museveni asinzidde ku ttendekero ly’abasomesa erya Soroti Core PTC mu district ye Soroti.
Gubadde mukolo ogw’okukuza olunaku lw’abavubuka n’agamba nti abavubuka basaana okubeera n’empisa mu buli kyebakola.
President atenderezza enteekateeka ya Nnaabagereka Sylivia Nagginda ey’okusomesa abaana abato enkola z’obuntubulamu, era alabudde abavubuka obutakemebwa kwenyigira mu bikolwa by’obufumbo n’abenganda zaabwe.
Mu ngeri yeemu president Museveni alabudde abavubuka obutazaalira ku myaka egitanneetuuka, kyagambye nti kyabulabe nnyo eri obulamu bwabwe, era n’asaba abatwala eby’obulamu okusomesa ba maama abazito n’abayonsa endya ennungi, okwongera okutumbula eby’obulamu ebirungi.
President yebazizza abateeso b’agambye nti batandise okuzimba amayumba agategeerekeka, nebakendeeza okusula mu busiisira, n’abasaba okukuuma obutiribiri ebifo by’entobazi.
President Museveni ku mukolo guno asoose kulambula nnyiriri, awamu n’okulambula ebintu ebyoleseddwa abavubuka.
Ssentebe w’abavubuka mu ggwanga Jacob Eyeru alaajanidde government okuteeka amaanyi mu kuyigiriza abavubuka eby’emikono, era nasaba abavubuka abatendekeddwa eby’emikono mu nteekateeka eya skilling, baweebwe entandikwa nga bamalirizza emisomo.
Minister omubeezi ow’abavubuka n’abaana Balaam Barugahara, ategeezezza nti abakulembeze b’abavubuka government esaana okwongera okubabangula baagale eggwanga yaabwe saako obutalowooleza nnyo mu kufuna ssente, nga bali mu bifo by’obukulembeze.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru