Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alabudde abantu okukomya okutematema obufi mu ttaka, nti kye kimu ku bisibye obwavu mu Uganda.
Awadde eky’okulabirako ekya bamulekwa abatematema obulele mu ttaka lya ba kitabwe, buli omu nagabana nga n’okulitunda kwebatadde.
President Museveni abadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala egiyindidde mu district ye Kiruhura.
President abakyala abawadde amagezi okukulemberamu kawefube w’okulwanyisa omuze gwa bamulekwa okukutulakutula mu ttaka, nti wabula balikolereko ebintu ebyenkulakulana, mu nkola ey’okugabana emigabo sso ssi kulitunda.
President Museveni era azeemu okukubiriza bannauganda okwerwanako bave mu bwavu nga bajjumbira program za government ezenjawulo ngeya Parish Development Model (PDM).
Ebikujjuko by’okukuza olunaku lw’abakyala olw’omwaka guno bitambulidde ku mulamwa ogugamba nti, “Obwenkanyankanya mu science ne tekinologiya n’eby’enjigiriza”.
Akulira emirimu gya bank y’ensi yonna mu Uganda, Mukami Kariuki, asinzidde ku mikolo gino n’asaba government ya Uganda okwongera amaanyi mukunnyikiza tekinologiya mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, nokusala ku bbeeyi abantu kwebafunira yintanenti.
President Museven era agguddewo ekifo ky’ebyempuliziganya ne tekinologiya mu district ye Kiruhura ekituumiddwa ICT centre.
Omukolo guno ogw’olunaku lw’abakyala gwetabyeko abakulembeze abakyala mu biti ebyenjawulo, okuli omumyuka wa president Jesca Alupo, Ssaabaminister Robinah Nabbanja, sipiika Anitah Among, Minister w’ekikula ky’abantu, abakozi nenkulakulana yabantu, Betty Amongi.
Akulira abakyala mu kakiiko aka National Women Council in Uganda, Hajjati Faridah Kibowa, awanjagide President okwongera okukwasizaako abakyala mu byobulamu n’enkulakulana ngawagira okwongera ku nsimbi eziteekebwa mu bibiina byabwe.
Abakyala mu bitongole by’okwerinda ebyenjawulo bayisizza ebivvulu mu maaso ga president.#