Ekibiina ky’obwannakyewa ekya Precious Baba Foundation kidduukiridde abamu ku batuuze b’omu Katanga/Mulago mu ggombolola y’e Kawempe n’obuyambi bw’ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo, naddala ebibakuuma nga balamu n’okwetangira omusujja gw’ensiri.
Bakoze ne bulungibwansi nebagogola ekitundu.
Enteekateeka eno bagituumye Katanga Malaria Elimination 2024, nga yakumala ekkaku bbiri mu bitundu eby’omugotteko.
Akulira Precious Baba Foundation agambye nti kino bakikoze oluvannyuma lw’okunoonyereza nebakizuula nti abaayo basinga kutawaanyizibwa musujja gwa nsiri olw’obukyafu n’obwavu.
Kansala Shalom Kemigisha akiikirira Wandegeya yeebazizza nnyo aba Precious Baba Foundation, olw’omutima omuyambi naddala eri abatalina busobozi.
Babawadde obutimba bw’ensiri, engoye, engatto ne Sanitary Pads eri abakyala n’abawala.
Bisakiddwa: Samson Kisekka