Omuvuzi w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu, ayongedde okutangaaza emikisa gye egy’okuwangula engule ya National Rally Championship ey’omwaka guno 2025, bwasitukidde mu mpaka za Masaka Rally Championship.
Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu nga yakawangula engule ya National Rally Championship emirundi 2, empaka za Masaka Rally Championship aziwangudde ali n’omusomiwe owa map Paul Musaazi mu mmotoka ekika kya Subaru Impreza N12.
Mafu Mafu olugendo olw’empaka zino aluvugidde essaawa 1 n’eddakiika 29 ne seconds 28.
Ronald Ssebuguzi n’omusomiwe owa map Anthony Mugambwa, batutte ekifo kyakubiri mu motoka yabwe ekika kya Ford Fiesta Proto, nga bano babadde emabega wa Mafu Mafu eddakiika 5 ne seconds 25.
Musa Ssegaabwe akutte ekifo kyakusatu, Duncan Mubiru Kikankane akutte ekifo kyakuna, Peter Kalule kyakutaano n’abalala.
Ponsiano Lwakataka Mafu Mafu kati awangudde engule 2 eziddiringana, nga yasooka kuwangula Mbarara Rally Championship eyasooka ku calendar NRC ey’omwaka guno 2025.
Empaka eziddako era nga zamwetoloolo ogw’okusatu ku calendar ya National Rally Championship zijja kubeera Mbarara mu May 2025.
Jas Mangat yeyawangula engule ya NRC omwaka oguwedde 2024.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe