Police ng’eri wamu n’ekitongole ky’amaka g’Obwa president ekirondoola Eby’obulamu ki state house health monitoring unit, bazudde unit z’Omusaayi 52 mu kamu ku bulwaaliro obutonotono mu Kibuga Mbale, nga kigambibwa nti gwabiddwa mu ddwaliro ekkuku erye Mbale, ate nga gubadde guyiseeeko ennaku.
Omusaayi guno okubadde n’Ebikozesebwa okukebera akawuka ka Mukenenya ,bizuuliddwa mu kalwaliro ka Health for life General clinic and medical Laboratory mu Kibuga Mbale, nga bikozesebwa ku balwadde ababa balinamu ku nsimbi.
Amyuka ssenkulu w’Ekitongole ekinoonyereza ku by’obulamu mu Maka goobwa president Dr. Brian Arinaitwe, agambye nti okuzuula bino kiddiridde okwemulugunya kw’Ebbula ly’Omusaayi okubadde kususse mu ddwaliro ekkulu e Mbale.
Police mu Mbale ekutte omukozi mu ddwaliro e Mbale Wamakale Simon, era nga yoomu ku bakolera mu kalwaliro omubadde omusaayi ogwayitako, agiiyambeko mu kunoonyereza n’okukwata abakozi abalala abataddeko kakokola tondeka mabega.
Dr Arinaitwe mungeri yeemu asabye wabeewo Okunoonyereza okwenjawulo ku Bulwaaliro, Amakeberero g’Omusaayi n’Obuduuka obutunda eddagala obuba buliraanye Amalwaliro amanene, wagambye nti eddagala lya government lingi gyerigwera.
Rogers Toitika Omwogezi wa police mu bendobendo lya Elgon ,agambye nti omukwate wakutwalibwa mu maaso g’Omulamuzi, nga n’omuyiggo ku balala bwegugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis