Abavuzi b’ebidduka abasukka mu mitwalo 40,000 bebakwatiddwa olwokuvuga obubi ebidduka byabwe mu mwezi gwa may 2022,abantu abalala abakunukkiriza mu 300 bebaafiiridde mu bubenje.
Emmotoka 1,855 zezaakubiddwa ebipapula bya police, olwa bannyini baazo okuvuga endiima eteeberezebwa nti yabadde eyinza okuleeta obubenje.
Abagoba 6,978 bakubiddwa ebipapula olwokuvugisa ekimama , so ng’emmotoka 8,979 zizuuliddwa nga ziri mu mbeera mbi nga tezikyasaana kutambulira ku nguudo za Uganda.
Abagoba ba mmotoka abalala 3,156 baggaliddwa olwobuteesiba misipi nga bavuga mmotoka.
Alipoota yeemu eraze nti abagoba 3,644 babadde bakozesa ebidduka nga tebalina biwandiiko bibasobozesa kuvuga mmotoka , 343 babadde tebaasasula musolo gwa Third Party Insurance.
Ayogerera poliisi yébidduka mu ggwanga Faridah Nampiima, ategeezezza nti basazeewo okwongera ku bungi bwábaserikale abakola ku nguudo okwetoloola eggwanga, oluvannyuma lwokukitegeera nti abaliko mu kadde kano tebamala, era ng’abagoba b’ebidduka babeera babalabiriza buli webabeera.
Agambye nti abagoba ba mmotoka abamu batikka akabindo okusinga ku basaabaze bebalina okutikka naddala mu bitundu gyebamanyi nti temuli biddo bya police.