Police mu district ye Padel akutte abantu 7 abagambibwa okubbisa emmundu n’okutigomya abantu , nga bano emmundu zebakozesa bazze bazibba ku baserikale ba police.
Abakwate bano kigambibwa nti beebamu ababba emmundu ku police ye Ongom,ekyaviirako omuserikale eyagibbibwako okwetuga mu mwaka oguwedde 2023.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti abakwate baakuyambako police n’ebitongole ebikuuma ddembe byonna okufuna obujulizi obukwata ku bubinja obukozesa emmundu mu bukyamu.
Bisakiddwa: Kato Denis