Police etandise okuyigga abazadde b’omwana ow’emyaka 6, abagambibwa nti bamuwadde emmotoka ekika kya Pajero naavuga, so nga takkirizibwa mu mateeka.
Police egamba nti kyebakola kyabulabe era kisoboola okuvaako abantu okufiirwa obulamu bwabwe.
Police y’ebidduka etegezezza nti etandise okunoonya abazadde abo bwebanaakwatibwa bagenda kuvunaanibwa ng’amateeka bwegagamba, kuba amateeka gamanyiddwa nti omuntu atanaweza myaka 18 takirizibwa kuvuga mmotoka.
Micheal Kananura, omwogezi wa police ye bidduka abadde mu ensisinkano ne banamawulire ku kitebe kya police e Naguru nasaba abazadde okubeera ab’obuvunaanyizibwa bewale embeera bwetyo eyinza okuviirako abantu okufa.
Mungeri yemu Kananura asabye abantu abagenda mu bikujjuko byokumalako omwaka naddala abava mu byalo nga bajja mu bibuga okwewala okuvuga endiima, eziyinza okuleetawo obubenje ku nguudo ne butwaliramu obulamu bw’abantu.
Mu ngeri yeemu police etegezezza mu ggandaalo lya Ssekukkulu wakati wa 22 ne 28 December,2025, waabaddewo akabenje kamu ddekabusa akaafiiramu abantumusanvu abaalibatambuliramu mmotoka emu e Njagalakasaayi mu district y’e Lwengo nga 27 December.
Wabula police egamba nti waliwo abaamenya amateeka g’okunguudo abawera 154 abaakwatiddwa neebaggalira mu budduukulu, era nti egenda kukola ekintu kye kimu ne mu bikujjuko ebimalako omwaka.
Abaakwatiddwa kuliko ababadde bavuga nga tebalina license, abatamiivu, okuvugisa ekimama, okutikka akabindo n’ebirala.












