Police eweze enteekateeka z’ekibiina ki National Unity Platform ez’okutalaaga eggwanga lyonna, okukunga abawagizi baakyo.
Kino kiddiridde obubenje obwenjawulo omugambibwa nti mwafiiriddemu abantu 4, akulira National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu bweyabadde agenda e Masaka okusisinkana abawagizibe.
Omwogezi wa police Fred Enanga etegeezezza nti banna NUP bafuuse bakiwagi ekiteetaagisa, bwebagaanye okugondera amateeka n’ebiragiro police byeyabawadde mu nkola yaabwe ey’emirimu, omwabadde n’Obutavugisa bidduka kimama.
Enanga ategeezezza nti Police tegenda kukkiriza bikolwa bya mpisa nsiwuufu kukolebwa mu nguudo.
Police eyimirizza enkungaana za NUP endala zonna , okutuusa ng’ okunoonyereza ku ngeri abantu abafiiridde ku luguudo lwe Masaka kuwedde ate newabaawo obwenkanya.
Abantu 3 bebafiiriddeko e Nsangi, ku bigambibwa nti emu ku mmotoka No.UBQ691Q ezaabadde ziwerekera Kyagulanyi yabatomedde, baabadde ku bodaboda.
Kigambibwa musajjamukulu omulala yatomeddwa mu bitundu bye Lukaya, akawungeezi.
Bisakiddwa: Kato Denis













