Police etandise ebikwekweto tokkoowenja ku Bantu abamenya amateeka ku nguudo, naddala abalina ebipapula by’rngassi yebatasasulanga.
Ebikwekweto bino bisinze kukolebwa kwabo abatalina driving permit, abataasasula bipapula bya ngassi, abatasiba misipi , abavuga endiima, wamu naabavugisa ekimama ku nguudo.
Abaserikale ba police bakedde kusuula ebiddo ku nguudo ezenjawulo naddala zimwasanjala, era nga ne bodaboda tezibitaliza.
Amyuka omwogezi wa police mu ggwanga Polly Namaye asabye abalina ebidduka bonna okutambula nga beetegefu ekimala, baleme kutataaganyizibwa ku nguudo.
Ebikwekweeto bino bigenze okutandika nga police y’ebidduka eri mu kattu, ku bigambibwa nti basirikale baayo baakumpanya ensimbi eziri eyo mu buwumbi bwa.shs 3.5, obwakumpanyizibwa abanene mu kitongole nga negyebuli eno bakyanoonyerezebwako.#