Police mu Kampala némiriraano ezzeemu okulabula banabyabufuzi abateekateeka okwekalakasa wiiki ejja, okuziyimiriza nti kuba police siyakubaganya.
Police erabudde abateekateeka okwekalakasa kuno obutetantala nti kuba yamaze dda okugwa mulukwe lwabwe nti kuba ebigendererwa byabwe sibyakulaga butalibumativu, wabula byakusaawo kajagalalo okutabangula ekibuga.
Police egambye nti era efunye amawulire nti waliwo abantu abatendekeddwa okutega bi bbomu ebigingirire era nti babadde batendekebwa mu bitundu okuli Mende mu District ye Wakiso ne Kiboga.
Police egamba nti abekalakaasi bakoze néntegeka eyókugulira abagoba ba bodaboda amafuta abaliko emirimu gyókwekalakaasa gyebalina okutuukiriza.
Omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Patrick Onyango agamba nti nabo bamaze okuteekateeka abasirikale babwe okwerinda embeera eno, singa abekalakaasi bawalaza empaka.
Wabula Nampala woludda oluvuganya government mu Parliament Johnbaptish Nambeshe agamba nti sibakuyimiriza enteekateeka zabwe ezokulaga obutali bumativu nga bakozesa enkola ezémirembe era ezikkirizibwa mu mateeka, bemulugunya mu nsonga zókukwata abantu babwe ewatali musango.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru