Police mu Kampala n’emiriraano ekutte akolanga ssentebe w’ekibiina ky’abasuubuzi ekya KACITA Hajji Isa Ssekitto ku bigambibwa nti abadde akuma omuliro mu basuubuzi nebekalakaasa.
Waliwo abasuubuzi abakolera ku bizimbe ebyenjawulo abemulugunya ku baggagga ababongeza sente z’obupangisa ebitundu 10%, nga kwotadde n’emisolo egiri waggulu n’ebirala.
Isa Ssekitto akwatiddwa police ya CPS mu Kampala, nga bagala agiyambeko mu kunoonyereza kwebaliko nti yomu ku bakuma omuliro mu basuubuzi okugalawo amadduuka.
Police era etegeezezza nti erina abantu 13 abakakwatibwa mu mbeera eno, nga kigambibwa nti nabo babadde bakuma omuliro mu basuubuzi okuggalawo amaduuka nebekalakaasa.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti fayiro z’abakwate zikolwako era essaawa yonna bakutwalibwa mu kooti bavunanibwe.
Luke asabye abasuubuzi abagala okuggulawo amadduka okukola nti baddembe, era nti ebyokwerinda babinywezezza okubasobozesa okukola emirimu gyabwe.
Agambye sibakukkiriza muntu yenna Aleeta kajjagalalo mu Kibuga Kampala era abageezako bakukwatibwa.
Wabula oluvannyuma Ssekitto ayimbuddwa ku kakalu ka police, era Owesigire agambye nti bakyalina byebakyamunoonyerezaako ku nsonga yeemu ey’okukuma omuliro mu basuubuzi.#












