Police ekutte omuvubuka Kiiza Ashiraf eyalabikira mu katambi ng’atema n’okukuba ennyondo omusajja Turyamuhaki Sam eyali abala ssente ezaali zimusasuddwa ku kyuma ky’obuwunga.
Embeera eno yali mu kitundu ekimanyiddwa nga Kabaawo ku Ttaano e Nateete ku kyuma kya kasooli ekya Bashir, ku monday nga 13 May,2024.
Okusinziira ku police, Kiiza olwamala okukola ettemu nadduka neyekukuma mu district ye Kyotera gyebaamukwatidde nga 15 May,2024, nebamuzza e Nateete gyeyaddiza omusango awerennembe.
Okusinziira ku mumyuka w’omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, bino byaliwo ku Monday nga 13 May,2024 ku ssaawa nga bbiri ezaakawungeezi, Turyamuhika yagenda okusasulwa ensimbi ku kyuma ky’obuwunga, era naaweebwa obukadde bwa shs 8.
Camera za wofiisi ziraga Turyamuhika ng’abala sente, Wabula omuvubuka Ashraf Kiiza omu ku bakozi mu kyuma kino mu ngeri etaategeerekeka yefuula alina byanoonya mu kikutiya, era n’asikayo ekijambiya n’ennyondo n’ayambalira Turyamuhika ng’amusaba ssente.
Mu ngeri ey’ekyekango tekimanyi muzira, Turyamuhika yasooka namukasukira sente zeyali abala, wabula oluvannyuma yagezaako okwekakaba amuvumbagire, wabula Kiiza namutematema ebiso n’okumukuba ennyondo ku mutwe.
Abadduukirize baagenda okumutuukako ng’alumiziddwa, nga n’omubbi yesimattudde n’adduka.