Police mu Kampala n’emiriraano ekutte omuntu omu ateeberezebwa nti yoomu ku baali mu mupango gw’ettemu eryakolebwa mu bitundu by’e Lungujja mu division ye Lubaga mu Kampala.
Kigambibwa nti 7 February,2026 mu Mbuubi zone e Lungujja mu Lubaga, abazigu baalumba wooteri ya Devo suits ne bafumita manager wa wooteri eno n’omukuumi nga bakozesa ebiso ebyabaviiraako okufa.
Kigambibwa nti nga bamaze okutta abantu, era babba n’emmotoka No.UBH 633M.
Police egamba nti okuva obutemu buno lwebwakolebwa, ebadde erondoola emmotoka eyo, okutuusa lwegifunye.
Mu kikwekweto ekyo ekwatiddemu Ssempala Allan agambibwa nti yoomu kubaakulemberamu obutemu buno.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala agambye nti Ssempala agenda kuggulwako omusango gw’obutemu n’emirala.#













