Police mu Kampala n’emiriraano ekutte abantu 2 ku bigambibwa nti balina kyebamanyi ku by’okutemula omuyizi w’esomero lya Kitebi SS mu Kampala owemyaka 17 egyobukulu.
Eyasangiddwa ng’attemuddwa ye Namata Faith omutuuze wa Kikuumbi zone mu Makindye Ssabagabo mu district ye Wakiso.
Omuyizi ono abadde asomera ku somero lya Kitebi SS erisangibwa e Wakulukuku mu division ye Lubaga mu Kampala.
Abakwatte ye Kakande Jerrimaya agambibwa nti abadde mugazi wa Namata Faith ne Kato Muhammed omugoba wa boda boda, nga kigambibwa nti bano bandiba ne kyebamanyi kutemulwa kw’omuyizi ono.
Okusinzira ku police ono asangiddwa nekwagulo nga kigambibwa nti baamutuze.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emirirano Luke Owesigire agambye nti abakwate bakuumibwa ku police e Katwe ng’okunonyereza bwekugenda maaso.
Mungeri yemu police egambye nti etandise okunoonyereza ku bazigu abagezezaako okunyagulula omuwala eyabadde atambulira ku boda boda, nebamusikako akasaawo ke nakanyweza ekyamuviirako okugwa wansi ku koolasi naafa.
Police egambye nti bino byabadde ku ssundiro ly’amafuta erimu e Naalya, era etandise okwetegereza kameera zaayo ezokunguudo okulaba nga bakwata ababadde mu bunyazi buno.#












