Police ekoze enkyukakyuka mu ntambula y’ebidduka, okwerinda omugotteko gw’ebidduka ogusuubirwa ku luguudo lw’Entebbe, akakiiko k’eby’okulonda nga katandika okusunsula abagenda okuvuganya ku bwa president mu kalulu ka 2026.
Okusunsula abanaavuganya kuteekeddwa mu kibangirizi ky’akakiiko k’eby’okulonda e Lubowa okutandika olwaleero nga 23 ne 24 September,2025.
Mu enteekateeka eno police y’ebidduka agambye nti bonna abagenda okusunsulwamu bakozese oluguudo lwa Yusuf Lule, bagende e Mulago,Bwaise,bagwe ku luguddo lwa Northern Bypass okutuuka e Busega, awo balinnye ku Entebbe Express okutuuka ku ttaawo lye Kajjansi, bayite ku luguudo olwe Entebbe olukadde batuuke mu kifo akakiiko wekasunsuliramu e Lubowa.

Abava e Kisubi bakozesa oluguddo lwe Nakawuka okutuuka mu Kibuga Kampala, sso nga abe Kajjansi mmotoka zonna zakukyusibwa okuyita e Munyonyo ku Auto Spa.
Police egambye nti mmotoka zonna eziva e Kampala tezikkirizibwa kuyita ku luguudo lwe Kigo, entambula ekyusiddwa okuva ku mafuta e Lweza.
Omwogezi wa police ye bidduka Micheal Kananura agambye nti abagenda okusunsulwamu emmotoka zabwe zakuteekebwa Munda mu Kitebe ky’akakiiko ke byokulonda, ate ababawerekeddeko bazisiimba mu kanisa ya St Joseph’s Lweza.
Kananura era agamba nti abanamala okusunsulwamu bakukozesa olugudo lwa Kigo rehabilitation Centre okugenda mu enteekateeka zabwe endala.
Mu ngeri yeemu waliwo abantu abasula okumpi n’enguudo eziteereddwako obukwakkulizo, bano baweereddwa ebipalati byebagenda okukozesa okutuuka mu Maka gabwe.
Kananula alabudde aba Boda boda nti tebalina kukozesa enguudo zino, era anaakwatibwa wakuvunaanibwa.#












