Amasasi nómukka ogubalagala bimyose mu bitundu bye Busoga, Police bwebadde egumbulula banna kibiina kya NUP lwebabadde bakubye okusabira bannabwe abaafa.
Kigambibwa nti waliwo akubiddwa essasi n’akosebwa nnyo, songa n’abalala bakoseddwa omukka ogubalagala.
Mu mbeera eno police ekutte banna kibiina kya NUP abavudde e Kampala kwosa okukwata emmotoka 3, zebakozesezza okuva e Kampala okugenda e Jinja mu Busoga.
Aba NUP babadde bategese olukungaana okusabira banaabwe abazze bafiira mu byóbufuzi era nga olukungaana baalutegese ku YMCA e Jinja.
Okusaba kubadde kwakatandika naye tekuwedde olwámasasi agavuze okumala akabanga nómukka ogubalagala.
Omwogezi wa police mu bitundu bya Busoga James Mubi agambye nti ekyakunganya alipoota ku bibaddewo, n’oluvannyuma wakuwa alipoota ku bibadewo.#