Abavubuka 4 bebateeberezebwa okwenyigira mu bubbi obwali ku kyalo Kaswa mu gombolola ye Lwankoni mu Buddu omwezi oguyise ogwa September,2024, bwebaazinda omusuubuzi w’emmwanyi Polinaali Ssemanda owa Zaavuga Coffee Factory nebamussa ku mudumu gw’emmundu nebamubbako obukadde bwa shs 150.
Nga wayise akaseera abatuuze ku kyalo Kalagala ekisangibwa mu Kaliisizo town council mu district ye Kyotera bekengera abavubuka okuli, Nabbimba Alex amanyiddwa nga Jajja Numba olw’okweyita omusawo wekinansi, saako Lule Alex amanyiddwa nga Dodo ne Kagimu Joseph amanyiddwa nga Bruno, bwebaakitegeera nti abantu babategedde nebadduka nebekukuma.
Wabula munabwe Mwanje Steven yakwatibwa era n’ayongera okubalonkoma nti badduka n’emmundu ekika kya AK 47, era okuva olwo Police ebayigga wabula bakyabuze.
Police ye Kyotera ngeriwamu n’omusuubuzi Ssemanda Polinali bataddewo akakadde k’ensimbi kamu kamu ku basatu abo abadduka, ezigenda okuweebwa omuntu anaayambako okutemya ku police okuzuula gyebali bakwatibwe.
Emmundu eno eyogerwako kigambibwa nti erudde ng’ekozesebwa okutigomya bannakyotera okusingira ddala abasuubuzi.
Kigambibwa nti abavubuka bano baasooka kuziinda mobile money Kuziriddamu mu kibuga kalisizo nebakuliita n’ensimbi ezawerako, nebalumba Jack Daniels ng’atwala sente mu Bank misana tteke nebamubbako obukadde bwa shs 19, ate oluvanyuma nabateega omugagga Ddamllira John naye nebamubbako obukadde bw’ensimbi 93 ngava mu Bank e Kyotera n’emMotokaye nabagisasira amasasi era naye gamukwasa oluba emagombe yasiimbayo kitooke.
Okusinziira ku muduumizi wa police mu kitundu ekyo Hassan Musooba, waliwo amawulire gebazze bafuna nti abavubuka bano bekukumye ku kitundu ekyo, era nti waliwo abantu ba bulijjo abatera okubalaba nga batambula naddala ekiro, ekyongera okwerariikiriza abantu.
Wano wasabidde abantu ba bulijjo okukolera awamu ne police nga bawaayo amawulire agakwata ku bavubuka bano bakwatibwe bavunaanibwe mu mbuga z’amateeka, baggyibweko n’emmundu.
Bisakiddwa : Ssozi Ssekimpi Lwazi