Pastor Alosyious Bugingo owa House of Prayer Ministries asimattuse okuttibwa abazigu abasindiridde emmotoka ye amasasi, omukuumiwe Richard Muhumuza gamukutte afiiriddewo.
Pastor Bugingo akubiddwa amasasi mu kitundu kye Namungoona mu gombolola ye Lubaga, okumpi ne Nansana abadde mu mmotoka ye eriko enamba ya PRAIZ GOD ng’adda waka.
Pastor Bugingo mu mmotoka abaddemu n’omukuumi we era ye afiiriddewo..
Okusinziira ku RDC we Nansana, Pastor Bugingo addusiddwa mu ddwaliro nebamwekebejja nebazuula nga tafunye bisago bya maanyi, era n’awebwa emmotoka ya police emuwerekedde okumuzza ewuwe.
Police era etandise okunoonyereza ku ttemu lino, eriko nebisosonkole by’amasasi byezudde.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire,agambye nti baakukozesa camera zokunguudo okwongera okunoonyereza.#