Parliament eyisizza okusaba kwa government okwewola ensimbi obuwumbi 700 okuva mu Stanbic bank okusasula kampuni ya Umeme,egenda okumalako Kontulakita yaayo ey’emyaka 20.
Wabula parliament okuyisa ensimbi zino, esoose kusuula ku bbali alipoota y’akakiiko kaayo akalondoola ebyenfuna byeggwanga lino, akabadde kekeneenya okusaba kwa government kweyasaayo okwewola ensimbi, nga alipoota yaako yabadde esabye parliament erindeko okuyisa ensimbi zino olw’ebirumira ebikyali mu nsonga za Umeme.
Alipoota y’akakiiko eyanjuddwa John Bosco Ikojo ssentebbe w’akakiiko kano.
Abuulidde parliament nti Ssaababalirizi wa govenrment nti yetakola kubalirira kutuufu olwa sente government sente zerina okusasula Umeme olw’ebintu byaayo byegenda okweddiza, sso nga temanyi muwendo gwabyo mutuufu.
Wabula ne parliament alipoota egisudde ku bbali, wakati mu babaka abamu okuva ku ludda oluvuganya government okuwakanya ekyokuyisa okwewola kuno.
Ssabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka abuulidde parliament nti singa parliament teyisa nsimbi zino nezisasulwa nga omwezi guno ogwa March 2025 tegunagwaako, Uganda egenda kukubwa engasi
Kinnajjukirwa nti mu mwaka 2011, parliament yanonyereza ku kampuni ya Umeme era neesalawo okusazaamu kontulakita yaayo, wabula government ekiseera ekyo yategeeza nti kyaali kya beeyi nnyo okusazaamu kontulakita eyo olwensimbi empitirivu zeyalina okugiriyirira.
Okusaba kwa governmet kuno okweewola ensimbi obuwumbi 700 okusasula kampuni ya Umeme kuyisiddwa wakati nga tewali mubaka noomu amanyi sente ntuufu governmnt zegenda kusasula kampuni eyo, olw’ebyobugagga byegenda okusigaza, kubanga SsaAbabaliriza omukulu owa government tanakola kubalirira okuzuula omuwendo omutuufu ogwensimbi ezirina okusasulwa Umeme
Ensimbi eziyisiddwa ziri obuwumbi 700, ziyiddwa mu nkola yakuteebereza.