Parliament eragidde akakiiko ka KCCA ak’ebyettaka, kanguyirizeeko okukola ekyapa ekyenjawulo ekimanyiddwanga special land Tittle ku ttaka okutudde ekitebbe ky’akakiiko k’eggwanga akalondoola obwenkanya ka Equal Opportunities commission ekyabibbwa.
Parliament esinzidde ku alipoota y’akakiiko kaayo akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government ka COSASE akakirambise mu alipoota yaako nti ekyapa ky’ettaka ly’akakiiko ka Equal Opportunities Commisson erisangibwa e Bugoloobi ,kitamanyidwaako mayitire
Akakiiko kano mu alipoota yaako essomeddwa ssentebe waako Owek Medard Lubega Ssegona, kakirambise nti enteekateeka za Equal opportunities commission okunoonya amayitire g’ekyapa zaagwa butaka, songa n’ezokusaba akakiiko ka KCCA okukola ekyapa ky’ettaka ekirala nazo zitambula kasoobo.
Dr Abed Abed Bwanika omubaka wa Kimaanya Kabonera asabye parliament eseewo amaanyi agenjawulo okutaasa obubbi bwebyapa by’ettaka okutudde ebitongole bya government, era awadde ekyokulabirako ekyebyaapa byettaka mu kibuga Masaka, ebizze bibbibwa oluvanyuma ettaka neritundibwa
Sipiika Anita Among asabye obukiiko bwa parliament nti bwebuba bwetegereza ebitongole bya government ebyenjawulo, ensonga y’etteka essibweko essira okukakasa oba ng’ebyapa by’ettaka eby’ogerwako oba nga bibirina.#