Ebitongole bya government bibiri okuli ekivunaanyizibwa ku ntambuza yennyonyi ki Civil Aviation authority ne ministry y’ebyobulimi obulunzi n’obuvubi bigugulanira ettaka erisangibwa ku kisaawe ky’Ennyonyi Entebbe nga liwezaako obunene bwa yiika 64.41.
Ettaka lino likozesebwa Ekitongole kya ministry y’ebyobulimi n’obulunzi ki National Animal Genetic resource center and data bank (NAGRIC) ekivunaanyizibwa ku kuzaazisa ensolo ezolulyo.
Mu mwaka 2019, ekitongole ki Civil Aviation Authority kyakwaata obuwumbi 2 nekitundu n’ekibuwa ministry y’ebyobulimi n’obulunzi etwala ki NAGRIC ekifunire ettaka eddala
Ministry yebyobulimi yafuna ettaka eriweza yiika 76 ku kyaalo Kyanuma mu Busiro mu district ye Wakiso okusengulirako ekitongole ki NAGRIC nemirimu gyaakyo mu mwaka ogwo ogwa 2019
Wabula alipoota y’akakiiko ka parliament akalondoola ebyentambula n’enguudo akalondoola n’ekitongole ki Civil Aviation eraze nti ekya ministry y’ebyobulimi okulemera ku ttaka ate lyeyaguza ekitongole ki Civil Aviation authority, kiziηηamizzza enteekateeka zekitongvole kino ezokugaziya ekisaawe ky’eggwanga eky’Ennyonyi eky’Entebbe
Kati akakiiko ka parliament nga kayita mu alipoota yaako, kagala ministry y’ebyobulimi n’obulunzi ekakibwe okuseengula ekitongole oba esasule ssente ezaakiweebwa nga mulimu n’amagoba.
Civil Aviation Authority era egugulana n’ebitongole bya goverment ebiwerako ebipangisa ku kisaawe Entebbe ebitaaagala kusasula nsimbi za bupangusa eziri eyo mu buwumbi 159.
Ebitongole bino kuliko ministry y’ensonga zobwa President namaka gobwa president, ministry yebyokwerinda, ministry yensonga z’amawang amalala nga eno ebanjibwa obuwumbi 87 e zobupangisa.#