Bya Ddungu Davis
Palamenti eragidde minister w’eby’obulamu Dr. Jane Ruth Achenge Ocero, okulabikako eri akakiiko akavunanyizibwa ku kulondoola ebisuubizo bya gavumenti n’okubiteekesa mu nkola, enkya ku lw’okubiri lwa sabiiti eno nga 30, okunyonyola n’okulambika ekikyalemesezza okugonjoola ensonga z’abasawo abali mu keddiimo akawezezza wiiki namba.
Ebbaluwa okuva mu yaafesi ya Clerk wa paalamenti, Gilbert Ainomugisha eragidde minister w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Achenge, n’olukiiko lwe olwekikugu okuteekateeka ekiwandiiko ekirambika ku nsonga eyo.
Wiiki ewedde abasawo abali mu keddiimo abegattira mu kibiina ki Uganda Medical Association baasisinkanamu omukulembeze w’eggwanga n’abakulu mu ministry y’ebyobulamu okwongera okukubaganya ebirowoozo ku keedimo kano. Gavumenti yabasuubiza nti ensonga zabwe zakukolebwako mu mbalirira y’omwaka gujja, abasawo kyebawakanya nga bagamba nti ebisuubizo bye bimu byezze ebawa okuva mu mwaka gwa 2017.
Bagala etandikirewo n’okubaako ebimu by’essa mu nkola ebisigadde bissibwe mu buwandiike, era Ssabaminisita wa Uganda Robina Nabbanja yabadde bano abawandiikidde ebbaluwaye nebajigaana nga bagamba nti ejjudde ebituli bingi nokusuubiza empewo.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya UMA Dr Herbert Luswata ategezezza nti omukulu bazeemu okumuwandiikira nga balambika ku nsonga zebaali basuubira okufuna mu bbaluwa eyo.
Ebyo nga bikyali bityo, bbo bannakyewa abatakabira ebyobulamu mu kitongole ekya African Centre for Global Health and Social Transformation (ACHEST), abakulirwa Prof. Francis Omaswa, balabudde gavumenti ku kubalaata kweriko mu kukuuma abasawo baayo, nti boolekedde okuddukira mu mawanga amalala ekiyinza okwongera ebbula ly’abasawo mu Uganda.
Mu kediimo k’abasawo akagenda mu maaso, bagala gavumenti eyongere okuwandiisa abasawo abajja mu malwaliro gaayo, okussaamu ebikozesebwa ebimala, okuliyirira bannabwe abakoseddwa ekirwadde kya covid 19, okubongeza omusaala n’ebirala.