Eklezia erangiridde nti Ppaapa Francis waakuziikibwa ku Saturday nga 26 April,2025 ku ssaawa nnya ezokumakya mu Basilica ya St. Mary Major e Roma.
Omulambo gwa Paapa Francis gulagiddwa ensi omulundi ogusoose, nga gugalamiziddwa munda mu ssanduuko ey’embaawo, eyaliriddwamu engoye emyufu, nga gwambaziddwa nagwo ebyambalo ne ssappule eyambaziddwa ku ngalo.
Emmisa y’okuziika egenda kukulemberwamu Dean of Cardinals, Kalidinaali Giovani Battista Re ng’ayambibwako ba Kabona abalala okuva mu nsi yonna.
Ku Wednesday nga 23 April,2025 ku ssaawa satu ezokumakya, omulambo gwa Paapa Francis gugenda kuggyibwa mu makage gyeyafiiridde mu Casa Santa Marta gutwalibwe mu lutikko ya St. Peters Basillica okutuusa ku Satuday lw’anaaziikibwa.

Obumu ku bulombolomba bwa Eklezia Katulika obukolebwa nga Ppaapa afudde, Camerlengo oba omuteesiteesi omukulu owe Vatican aggala ekisenge kye kya Paapa afudde, okukakasa nga tewali muntu yenna akiyingiramu, okutuusa nga Ppaapa omuggya alaangiriddwa.
Eklezia yalangiridde Noveena ya nnaku 9 ez’okukungubagira Paapa Francis, ng’emikolo gyonna egy’okukungubaga gyakukulemberwamu “Camerlengo” Kalidinaali Kevin Farrell, era yagenda n’okukulemberamu n’enteekateeka z’okulonda Ppaapa omuggya.
Mu nteekateeka eno, ba kalidinaali abatasukka myaka 80 egy’obukulu, batuula mu kafubo nga beggalidde mu kisenge (Conclave) nebeerondamu afuuka Ppaapa.
Era Paapa bwamala okulondebwa Camerlengo naamulangirira, omukka omweru gukumibwa okuva mu kisenge ekyo, ng’akabonero eri abali ebweru n’ensi yonna nti Eklezia afunye Paapa Omuggya.
Ate singa balemererwa okumulonda, omukka omuddugavu gwegulina okufuluma.
Bino byonna bikolebwa nga Ppaapa afudde tannaziikibwa.

Wabula ku Ppaapa Benedicto XVI ssibwegwali, olw’okuba nga yawummula obuweereza nga takyeyiinza, era agenda okufa mu December,2022, nga Paapa Francis yalondebwa dda.#