Munnakibiina kya NRM Onesmas Twinamasiko, eyesimbyewo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Bugangaizi East asiindikiddwa ku alimanda mu kkomera, avunaaniddwa omusango gw’okukuba ekikonde n’okulumya Ssaabaminister Robinah Nabbanja.
Omulamuzi wa kooti e Kibaale Nazifah Namayanja, yamusindise ku alimanda.
Kigambibwa nti yamukuba nga 17 July,2025, ku wofiisi za NRM mu district ye Kakumiro, ewaali walangirirwa ebyali bivudde mu kulonda akamyufu ka NRM.
Okulangirira obululu nga kugenda mu maaso, akavuvungano kaabalukawo, gyebyagwera nga Twinamasiko avudde mu mbeera n’akuba Ssaabaminister ekikonde, wakati mu bawagizi n’abebyokwerinda nga weebali.
Bino byonna Twinamasiko abyegaanye baasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kibaale, okutuusa nga 10 September,2025.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












