Ab’obuyinza e Mayuge baliko abafumbo bebakutte ku bigambibwa nti baayokezza omwana wabwe nga bamulanga okweyongeza enva z’ebyenyanja.
Omwana eyayokeddwa emikono n’emimwa wa myaka 2.
Abakwate kwekuli Emmanuel Byakika ne mukyalawe Nabirye Niiko, baggaliddwa mu kaduukulu ka police e Mayuge.
Omu ku bavunaanyizibwa ku kulwanirira eddembe ly’abaana e Mayuge Balundda Edward, avumiridde ebikolwa ebikambwe ebikolebwa ku mabujje, n’asaba police ekole ogwaayo mubulambulukufu abantu abo batwalibwe mu kooti bavunaanibwe.
Bisakiddwa: Kirabira Fred