Abadde omuteebi wa club ya Vipers FC eya Uganda premier league munansi wa Nigeria Abubakar Lawal afiiridde mu kabenje ku kizimbe kya Voicemail shopping Arcade e Entebbe.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa police, kigambibwa nti Lawal awanuse ku mwaliriro ogwokusatu ku kizimbe kya Voicemail shopping Arcade n’agwa wansi.
Kigambibwa nti Abubakar Lawal abadde agenze kukyalira mukwano gwe Omary Naima munnansi wa Tanzania asula ku kizimbe ekyo.
Naima agamba nti alese Abubakar ewaka nga yefuumbira chai, ye n’agenda mu kifo ekizannyirwamu emizannyo munda mu kizimbe, azeemu kuwulira nti Lawal avudde ku kizimbe naagwayo wansi.
Addusiddwa mu ddwaliro lya Entebbe wabula tasimattuse.
Ku kizimbe kusangiddwako emmotoka y’omugenzi No.UBQ 695G, essimu ze bbiri, engoye zakoleramu dduyiro, n’ebintu ebirala ebisangiddwa mu nsawo ye gyabadde agenze nayo ewa mukwano gwe.
Police etegezezza nti ekyetegereza obutambi bwa Camera eziri ku kizimbe okukakasiza ddala ekibaddewo, n’oluvannyuma bafulumye alipoota.
Lawal yegatta ku Vipers FC nga 18 July,2022, yava mu club ya As Kigali eya Rwanda gyayali amaze ebbanga lya myaka 2.
Abubakar Lawal yasembyeyo okulabikira ku team ya Vipers FC nga 16 February,2025 , mu mupiira Vipers mweyawangulidde KCCA goolo 2 – 0 mu kisaawe e Lugogo