Kkooti enkulu e Koboko esindise omusawo Adokorach Gloria ku alimanda oluvannyuma lw’okwegaana omusango gw’okufuna ensimbi obukadde 40 mu lukujjukujju n’okulagajjalira omulimu gwe.
Omulamuzi Matthew Longoria yamusindise mu kkomera okutuusa ng’ennaku z’omwezi 13 March, 2025.
Kigambibwa nti mu mwaka 2018 mu mwezi gw’omwenda Adokorach Gloria government yamuwa omulimu ogw’obusawo ng’obuzaalisa mu ddwaliro ekkulu erya Koboko district,wabula yakoma kulinnyayo mu mwaka gwa 2013, kyokka ng’abadde asasulwa omusaala.
Omusawo ono yakwatibwa oluvannyuma lw’okunoonyereza okwakolebwa akakiiko aka State House Anti-corruption unit wamu ne police.
Okusinziira kukunoonyereza okwakolebwa, kyazuulibwa nti omusawo ono yali amaze ebbanga ddene nga talabika ku ddwaliro lino era nga kigambibwa nti yali yafuna omulimu omulala ogw’okukola ku sikaani (Scan) ku mu ddwaliro ekkulu e Yumbe.
Omwogezi w’akakiiko ka State House Anti-Corruption Unit Marriam Natasha agambye nti abantu bebaawaaba ensonga eno mu kakiiko kano era, nasaba bannansi beeyongere okuloopa abalyi benguzi.
Bisakiddwa: Betty Zziwa