Omuwabuzi wa President ku nsonga zekinnamaggye era mugandawe, nga yakulira Operation wealth Creation General Salim Saleh Akandwanaho agobye abayimbi nebannabitono obutaddamu kugenda Gulu okumulaba naddala mukiseera kino ekyennaku enkulu.
General mu bubaka bwawandiikidde omuwabuzi wa President ku nsonga zebiyiiye n’ebitone, Edriisa Musuuza ,agambye nti akooye abayimbi abeeyiwa e Gulu munnaku zino enkulu kubanga bataataaganya emirimu gye.
Captain Wilson Kato Agaba omwogezi wa Operation wealth Creation agambye nti General Saleh yawabudde abayimbi nti bwebaba balina ensonga zebamwetaaza bayite mu mukulembeze wabwe atwala ekibiina ki Uganda musicians Association Edriisa Musuuza nti yaggya okuzituusa gyali
Wabula abayimbi bano balina ebiwayi ebyenjawulo n’obukulembeze obwenjawulo, era nga waliwo abatakkiririza mu kibiina ekikulirwa Edriisa Musuuza.#