Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kyengeza A mu gombolola ye Kirumba mu district ye Kyotera Namukadde Nowerena Nakabuubi owe myaka 77 bweyekyaye neyekumako omuliro, ng’alumiriza abaanabe obutamufaako.
Kigambibwa namukadde ono abadde yalwala amagulu, wabula nti asobodde okwavula nagenda ewaterekebwa amafuta nageeyiira neyekumako omuliro.
Abatuuze abakulembeddwamu Ssekyanja Zaveriano bazze nebamusikayo mu muliro naye ng’ayidde nnyo.
Ssekyanja agamba nti omukadde ono aludde ng’agamba nti yekyawa dda ayagala afe aveewo, era abadde alumiriza abaana be 6 beyezaalira obutamufaako.
Agamba nti abaana 3 babeera Nairobi mu Kenya, ate 3 babeera Kampala, nti wabula baamufunirayo akaana akato kaabeera nako era kano kekatemezza ku batuuze.
Police y’e Kirumba eyitiddwa ng’ekulembeddwamu Musinguzi Appolo neragira omukadde atwalibwe mu ddwaliro eddene e Kaliisizo.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi