Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Ssingo lutandikiddewo omuyiggo ogw’omutendesi omugya oluvanyuma lw’abadde omutendesi Hamuza Lutalo okusuulawo omulimu guno.
Hamuza Lutalo alumiriza nti ebikolwa ebyefujjo okuva mu bawagizi ba Ssingo nga bigenda eri abatendesi byebimuleetedde okuteendewalirwa.
Awadde eky’okulabirako nti eky’abawagizi abaali baagala okubalumya mu mupiira Ssingo gwe yazannya ne Butambala e Kibibi, ogwaggwa 0-0.
Ku mupiira ogwo abawagizi ba Ssingo baatabukira abatendesi ba Ssingo nga babalanga omutindo ogw’ekiboggwe.
Hamuza Lutalo era agamba nti endabirira ebadde tematiza, ensako yabwe okulwawo, n’abantu abamu okuyingirira emirimu gye.
Ssingo agirese tenawangulayo mupiira gwonna mu mpaka za Masaza ez’omwaka guno 2025, era erina obubonero 3 mu mipiira 3.
Ssingo egenda kuzaako okuzannya ne Kkooki mu kisaawe e Mityana ku Sunday eno nga 20 July.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













