Omusirikale wa police abadde ku ddaala lya Commissioner mu police Godfrey Maate afudde mu ngeri ey’ekibwatukira.
Commissioner wa Police Godfrey Maate kigambibwa nti yafunye obuzibu bw’obutassa bulungi era naddusibwa mu kalwaliro akamu akasangibwa mu District ye Kyotera naafa nga bukya.
Okusinzira ku police tekinategerekeka bulungi ekyavuddeko okufa kw’omusirikale wabwe ono nti kubanga tabadde nabulwadde bumutawaanya bwonna.
Omwogezi wa police mu benddobenddo lya Masaka Twaha Kasirye ategezezza cbs nti omulambo gwa Maate gutwaliddwa mu ddwaliro e ekkulu e Masaka okwongera okwekebejjebwa, era mu kaseera kano baliinze alipoota y’abasawo olwo bafulumye enteekateeka nga bali wamu ne family ezokuwerekera omugenzi mu kitibwa.
Twaha agambye nti Maate abadde musirikale wanjawulo munkola ye ey’emirimu.
Godfrey Maate wafiridde abadde yaadduumira police ya Sango Bay mu district ye Kyotera, sso nga era mu mwezi gwa July 2025, Ssabapolice wa Uganda Abas Byakagaba abadde yamulonda okubeera kalabaalaba w’ebyokulonda kuludda lwa police mu bitundu bya Masaka .
Commissioner Maate yemusirikale eyasooka okutwalibwa ku ttendekero ly’amagye nga mupolice, erisangibwa e Jinja okutendekebwa mu 1998.
Wakati wa 1999 ne 2000 yatekebwa ku police ya CPS mu kampala mu kitongole ekivunanyizibwa ku bikwekwetO, gyeyava naweerezebwa mu district ezenjawulo ng’omudduumizi wa police okuli Kalangala, Kasese, n’endala.#











