Abazigu abanyazi b’ente okuva mu ggwanga lya Kenya abamanyiddwa nga West Pokot bakoze obulumbaganyi kubasirikale ba Police ya Nakapiripiti Central Police Station mu District Nakapiripiti mu Uganda, nebatta omusilikale nókulumya abalala.
Kigambibwa nti abalumbaganyi bano ku saawa nga taano ezékiro balumbye ekyalo ekimanyidwa nga Kakomongole mu District ye Nakapiripiti n’ekigendererwa ekyókunyaga emmundu,ebisolo nébintu ebirala.
Wabula police ebagudde mu buufu era wakati mu kuwanyisiganya amasasi omusirikale ategerekese nga ye Police Constable Rapheal Opio Akol abadde akolera ku CPS ye Nakapiripiti akubiddwa amasasi agamutiddewo.
Omwogezi wa Police mu bitundu bye Moroto Mike Longole ategezezza nti nga bayambibwa amagye ga UPDF basobodde okutta omu kubalumbaganyi kyokka abalala nebadduka.
Longole agambye nti mu bbanga lya wiiki emu yokka abasirikale 3 okuli aba Police 2 n’owa UPDF 1 bebakattibwa abalumbaganyi mu kitundu kyekimu.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius