Omukuumi w’ekkonera abadde atema ettabi ly’Omutuba akubiddwa amasanyalaze n’akalirawo mu komera lye Bukedea.
Omugenzi Mwanja Moses abadde atema ettabi ly’Omutuba, kyokka bweribadde likutuka nerikoona ku waya y’Amasannyalaze negamukuba.
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera Frank Baine, agambye nti Omugenzi abadde mutuuze ku kyalo Nkono I ekisangibwa mu Town council ye Iganga.#
Bisakiddwa: Kato Denis