Abatemu abatanamanyika batemudde omusawo w’ekinnansi Juma Magala myaka 70, abadde akolera ku kyalo Ssaali Bukandula mu district ye Gomba.
Abadde asawulira ne ku kyalo Kasenge mu town council ye Kyengera mu Wakiso.
Mukyala w’omugenzi nga ye Mastulah Namugga agambye nti bba yatemuddwa ssaawa nga 3 ez’ekiro, abasajja 3 abaabadde bazze okubasawula baajidde ku pikipiki ababiri nebasigala ebweru, omusawo Magala n’ayingira mu Ssabo noomu ku basajja bano, nti oyo yandiba nga yeyabadde nejjambiya gyeyakozesezza omusanjaga omugenzi.
Namugga ategezezza nti abasajja bano baavudde Kampala nebamusaba abasawulire mu ssabo lye Gomba, nti era baasoose kumusindikira nsimbi ku ssimu.
Yabadde yakatuuka, abasajja 3 nabo nebatuuka era nayingira essabo atandike omulimu.
Omukyala n’abaana balabidde awo ng’abasajja basimbula pikipiki bagenda, baagenze okutuuka mu ssabo nga Magala Juma yebasse mu kitaba ky’omusaayi.
Police etuuse neggyawo omulambo negutwalibwa ku ddwaliro e Gombe okwongera okwekebejjebwa.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick