Police mu district ye Luuka etandise okunoonyereza ku kivuddeko omuliro ogusaanyizaawo ennyumba, mufiiriddewo omuvubuka wa myaka 22 n’ebintu byonna bisanyeewo.
Enjega eno egudde ku kyalo Buwutu mu gombolola ye Ikumbya Luuka district.
Omugenzi ye Karobe Charles myaka 22.
Kigambibwa nti mu kiro ky’olusooka omwaka waliwo abantu abaawuliddwa nga bakasuka amayinja ku nnyumba y’omugenzi, wayiseewo akaseera katono ennyumba n’ekwata omuliro, era Karobe teyasimattuse.#