Ebintu ebitannamanyika muwendo bitokomokedde mu nnabbambula w’Omuliro akutte Ennyumba z’Abantu ku kyalo Lokwamoru mu gombolola ye Lorengedwat mu district ye Nabiratuk e Karamoja.
Omuliro guno ogukutte ku ssaawa musanvu n’ekitundu ez’emisana, gusanyizzaawo Emmere n’ebintu ebirala omuli ebidomola, eby’okwebikka ne Kalonda Omulala mungi akozesebwa mu Maka.
Irene Nakasiita avunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Uganda Red Cross ategeezezza nti tebannafuna muwendo gwa bintu byonooneddwa mutuufu, wadde nga bakyakola ekisoboka okugufuna.
Abantu abakoseddwa olw’omuliro guno basoba mu 200, era nga guno mulundi gwa 4, ng’ebitundu ebyenjawulo mu Karamoja bikwata Omuliro negusanyaawo Ennyumba.
Omuliro ogubadde gwakasembeyo okukwata gwali Naduget mu district ye Moroto, Lopei mu Napak district.
Bisakiddwa: Kato Denis