Omuliro ogutanategerekeka kweguvudde gusaanyizaawo akatale k’abasuubuzi ake Kataawo mu Municipality ye Bugiri.
Sentebe we kyalo kino Bazibu Musa agamba nti omuliro gutandise ku saawa nga kkumi nga bukya negusanyaawo emaali yonna mu katale kano.
Akulembera abasuubuzi Musobya Moses agambye nti emmaali yonna esaanyeewo, nawanjagira abakulembeze babwe babadduukirire.#