Jjaja w’obuyisiramu Omulangira Mbuga Kasim Nakibinge Kakungulu awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe mu ggwanga bikomye okutulugunya bannansi buli lwewabaawo okulonda, nabasaba baleme kubeera nakyekubiira.
Omulangira Kasim Nakibinge abadde akyazizza abakulembeze b’ekibiina kya NUP abakulembedwamu president w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu, bwebabadde bamukyalideko mu makage e Kibuli mu gombolola ye Makindye.
Omulangira agambye nti kyenyamiza okulaba abasirikale be ggwanga, abassibwawo okukuuma emirembe, ate okukkakana ku bannansi nebanakuba emiggo n’abandi amasasi.
Abajukiza nti okulonda kugenda kuggwa kyokka ate abasirikale bebamu badde mu bantu bebabadde bakuba emiggo buli lukya.
Omulangira Nakibinge era asoomoozezza akakiiko k’ebyokulonda okutegeka akalulu akataliimu kyekubiira.
Akoowodde banna Uganda ku lunaku lw’okulonda beeyiwe mu bungi mu bifo ebironderwamu bakozese eddembe lyabwe nga bweribaweebwa mu Ssemateeka.
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yebaziza omulangira mbuga olwokwogeranga ku nsonga eziruma banna Uganda abanyigirizibwa ,ate n’okuvumirira ebikolwa eby’obukambwe ebikolebwa ku banna Uganda.#












