Police mu district ye Mbale etandise omuyiggo gw’abatemu abakkakkanye ku muyizi omuwala ow’essomero lya Nakaloke SS nebamutuga,oluvannyuma nebamusuula mu kidiba ky’amazzi.
Ettemu lino likoleddwa ku kyalo Nandala A Cell ,omuyizi Sanzitta Salima Ow’emyaka 18 bwasangiddwa ng’omulambogwe gutengejjera ku mazzi.
Omulambo gw’omuyizi ono gusangiddwa gusaliddwako omumwa ogwa waggulu, era nga gubaddeko ekisago ekinene ku liiso, songa ku nsingo kubaddeko enkwagulo eziraga nti atugiddwa.
Omwogezi wa police mu Elgon Rogers Taitika ategeezezza CBS nti abatemu bano bagenda kuyiggibwa bakwatibwe, kuba baliko obujulizi bwebafunye obugenda okuyambako mu kunoonyereza.
Omulambo gw’omuyizi gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mbale ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis