Omutaka w’akasolya k’ekika ky’Endiga Eng. Daniel Bbosa akubiddwa amasasi agamuttiddewo.
Omutaka Lwomwa attiddwa ng’anaatera okutuuka mu maka ge e Lungujja.
Abadde ava ku mukolo gw’okumanyagana ogw’abazzukulube ab’essiga lya Ssekoba Busanga Kkome e Ggonve Katosi mu ssaza Kyaggwe mu district ye Mukono.
Omutaka Lwomwa abadde atambulira mu mmotoka No.UAH 637X, abaddemu ne mukyala we asimattuse.
Aberabiddeko nagaabwe ng’enjaga eno egwawo bagamba nti abatemu babadde batambulira ku pikipiki obudde misana ttuku, basoose kusindirira mmotoka masasi nga bajiva e Mabega, n’oluvannyuma nebajisembera mu mabbali nebasindirira omutaka amasasi.
Kigambibwa ntu abagoba ba bodaboda abalabye abatemu bano nga badduka babasimbyeko, wabula abadde nemmundu agezezaako okuboolekeza amasasi, emmundu kwekukwatira mu mpagi za pikipiki nebakuba ekigwo, omu n’afiirawo.
Akulira eby’okwerinda ku kyalo Bulange Mawejje Vincent agambye nti abagoba ba bodaboda abalabye abatemu bano nga badduka babasimbyeko, wabula abadde nemmundu agezezaako okuboolekeza amasasi, emmundu kwekukwatira mu mpagi za pikipiki nebakuba ekigwo, omu n’afiirawo.
Omulala alumiziddwa era police ezze nemutwala wamu n’emmundu gyebakozesezza okutta Omutaka.#