Omukka ogubalagala gumyose ku wofiisi za Rtd Col Dr.Kiiza Besigye ku Katonga road mu Kampala,n’abamu ku bantu bafunye ebinuubule,police bwebadde egumbulula banna FDC abakungaaniddeyo.
Ekiwayi kya bannaFDC bano ekirimu eyali omwogezi era omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemujju Nganda , atwala FDC mu Buganda lord Mayor Erias Lukwago n’abalala kibadde kitegese kukungaanira ku Nature’s Resort Busaabala wabula police n’ebateera emisanvu mu kkubo nebagobayo.
Basazeewo okugenda okusisinkana ku wofiisi za Dr.Besigye ku Katonga road okubaako ensonga zebegeyaamu.
Police yasoose kubategeeza nti terina busobozi bubakuuma, wadde ng’abasirikale babaddewo mu bungi eBusaabala ne ku Katonga road okubatangira okutuuza olukungaana lwabwe.
Mu ngeri yeemu kooti yayisizza ekiragiro ekiwera ttabamiruka wa FDC eyabadde ayitiddwa ssentebe wa FDC Wasswa Biriggwa.#