Libadde ssanyu ssa nga Namukadde owemyaka 90 addizibwa amakage agasangibwa e Kagoma mu Wakiso, muzzukuluwe geyali yamugobamu mu 2019.
Namukadde Bulya Alice ow’emyaka 90 agamba nti muwala we Ruth Nabatanzi yeyali yamuzimbira amaka gano.
Wabula Nabatanzi abazigu baamulabiriza ng’alina ensimbi nebamuteega ku faamu ye e Nakasongola mu 2019 nebamutemula n’ensimbi nebakuuliita nazo.
Bulya agamba nti bweyagenda okuziika, yakomawo oluvannyuma lw’ennaku 10 yasanga muzzukulu we azaalibwa mutabaniwe ng’ennyumba agyeddizza era nagimugobamu.
Alumirizza omuzzukulu yoomu okutunda n’ettaka ly’omugenzi eriweza yiika 240 eryali lisangibwa mu district ye Nakasongola.
Ng’ayambibwako aba Bibanja Owner’s Development Association yekubira enduulu mu office ezenjawulo.
Baagenda muwofiisi ekola ku nsonga z’abafu eyamuwa ebbaluwa (certificate of no objection) eyamusobozesa okugenda mu kooti e Nabweru, eyamwongerayo ne mu kooti enkulu ekola ku nsonga z’amaka e Makindye eyamuwadde olukusa mu bujjuvu obw’okulabirira emmaali ya muwala we eyafa nga tazadde mwana yenna.
Namukadde Bulya Alice ng’ali wamu n’abamu ku bawala be, azzeeyo mu maka ge e Kagoma oluvannyuma lw’emyaka 5.
Bob Mpima akulira aba Bibanja Owner’s Development Association, awanjagidde government okwongera amaanyi mu bitongole ebirwanyisa ababbi b’e Ttaka, nti kubanga bannakigwanyizi kyenkana buli lunaku oluyitawo beyongera obungi.
Bisakiddwa: Musisi John