Police n’Amaggye baayiiriddwa ku kyalo Kyatuulo mu ggombolola ye Mijwala mu district ye Ssembabule, okunoonyereza ku muserikale w’eggye lya UPDF asangiddwa enkya ya leero nga 18 October,2024 g’attiddwa.
Omujaasi ono Corporal Geofrey Tumuramye abadde abeera mu nkambi ye Makenke mu district ye Mbarara, wabula nga yabadde azzeeyo ku kya Kyatuulo okulaba ku bantu be.
Akulira eby’obutebenkevu mu muluka kwe Nsoga Maalo Dalaus ategeezezza nti omujaasi ono yalabiddwako mu ka tawuni ke Katwe ng’avuga pikipiki Bajaj Boxer No.UFG 008Q, era nga kiteeberezebwa nti abaamusse baakuuliise nayo, kubanga nayo terabikako.
Police ereese embwa ekonga olusu n’esibira ku bbaala emu, era eno abawala babiri abasangiddwamu bakwatiddwa, bagende bayambeko police mu kunoonyereza.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito