Okuwulira omusango ogwókukuma omuliro mu bantu oguvunaanibwa omubaka wa Kawempe North Muhammed Ssegirinya nate kugudde butaka, omulundi ogwókuna ogwómuddiringanwa.
Munnamateeka we Shamim Malende talabiseeko mu kkooti.
Omulamuzi Siena Owomugisha owa Buganda Road Court omusango agwongeddeyo okutuuka nga 30 June, bwategeezeddwa nti Shamim malende mukosefu tasobodde kubaawo leero.
Munnamateeka Kassim Ddamulira yátuusizza amawulire agóbulwadde bwa Shamim Malende, era mu butongole násaba kkooti omuango egwongereyo.
Ssegirinya gwebakazaako erya Mr Update, government emulumiriza okukuma mu bantu omuliro.
Kigambibwa nti Sseggirinya yateeka obubaka ku mutimbagano, ngálabula nti abaali beesomye okutta Robert Kyagulanyi Ssentamu, bakimanye nti eggwanga baali balireetera mitawaana.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Ivan Kyazze lutegeezezza nti abajulizi 4 be babadde abókwanjula leero nga bonna basirikale ba police.
Guno omulundi gwakuna ngómusango gwa Ssegirinya teguwulirwa, emirundi gyonna lwe gubadde guleeetebwa mu ddiiro wabaawo ekigwawo.
Omulundi ogwasooka mu september 2021 Ssegirinya ne mubaka munne owa Makindye West Allan Ssewannyana baali bakwatiddwa police e Masaka.
Bavunaanibwa emisango egyekuusa ku butemu bw’ebijambiya omwafiira abantu abasoba mu 30 mu bitundu bye Masaka, nókutuusa kati nagyo gikyabaleebuukanya.
Ne gyebuli eno bakyakuumirwa mu kkomera e Kigo.