Omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende adddusiddwa mu ddwaliro lya Agakhan Nairobi mu Kenya, ng’embeera y’obulamu bwe etabuse.
Malende amaze ekiseera ng’olumbe lumugoya n’ajjanjabirwa mu malwaliro agenjawulo mu Uganda ne Kenya, era nnassuuka.
Wabula oluvanyuma lwakanyoola bikya akaali mu parliament mu November 2024, ababaka ku ludda oluvuganya government bwebaali bawakanya eky’ojugatta ekitongole ky’emmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority ( UCDA) ku ministry y’ebyobulimi, yoomu kubaayoolebwa ab’ebyokwerinda abaali mu ngoye ezaabulijjo abesoggga ekisenge ekiteesebwamu, era naayisibwa bubi.
Kusaawa nga kkumi ez’ekiro ekikeesezza olwaleero nga 10 April,2025 aggyiddwa mu makaage agasangibwa e Kawempe Ttula, n’atwalibwa e Nairobi ng’embeera etabuse.
Nassuuna Jane Francis nnyina wa Malende agambye nti n’okutuusa kati tamanyi kituufu kitawanya bulamu bwa muwalawe.
Shamim Malende yalondebwa ng’omubaka wa parliament omukyala owa Kampala mu 2021 ku kaadi ya NUP, era nga yoomu ku bannamateeka abaakola ennyo mu misango gy’ebijambiya egivunaanibwa ababaka okuli owa Makindye West Allan Ssewannyana neyali owa Kawempe North Omugenzi Muhammad Sseggiriinya.#